Matthew 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeruzaalemu ne Buyudaaya yenna n'ensi yonna ekoota Yorudani ne bagendanga gy'ali,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu baavanga e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baavanga e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu kitundu ekiriraanye Omugga Yorudaani, ne bajja gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali;