Matthew 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalaba nga bangi mu Bafarisaayo ne mu Basaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'amasalambwa, ani abalabudde okudduka obusungu obugenda okujja?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti, “Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yalaba ng'Abafarisaayo bangi n'Abasaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Lwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajjirira okubatiza kwe n'abagamba nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?