Matthew 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temulowooza nga mwegamba nti: ‘Tulina kitaffe Yiburayimu,’ kubanga, ka mbabuulire, mu mayinja gano gennyini Katonda ayinza okuggyiramu Yiburayimu abaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
muleme kulowooza n'okwogera mu mitima nti, “Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe; kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okufuuliramu Ibulayimu abaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era muleke kweyinula nga mugamba nti: ‘Tulina kitaffe Aburahamu.’ Kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abaana ng'abaggya mu mayinja gano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
temulowooza kwogera mu mitima nti Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.