Matthew 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu kwe kumugamba nti: “Vvaawo, Sitaani, kubanga kyawandiikibwa nti: “ ‘Osinzanga Omukama Katonda wo, era yekka gw'oweerezanga.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'amugamba nti, “Vaawo genda, Setaani! kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agamba Sitaani nti: “Vvaawo Sitaani! Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'amugamba nti Vaawo genda, Setaani: kubanga kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo; era omuweerezanga yekka.