Matthew 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ensi ya Zebuluni n'ensi ya Nafutali; Ekkubo ery'oku Nnyanja, emitala wa Yorudani; Galilaaya ey'Amawanga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja, n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani, n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, Eyoolekedde ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'abamawanga amalala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ensi ya Zebbulooni, n'ensi ya Nafutaali, etunuulidde ennyanja, emitala wa Yorudaani, Galilaaya ey'ab'amawanga amalala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, Ekkubo ly'ennyanja, emitala wa Yoludaani, e Ggaliraaya ey'amawanga.