Matthew 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu abaali batudde mu kizikiza, balabye ekitangaala ekinene; n'abaali batudde mu nsi ne mu kisiikirize eky'olumbe ekitangaala kibaakidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu abaatuulanga mu kizikiza, balabye Omusana mungi. Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa, omusana gubaakidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abaali batuula mu kizikiza, Balabye omusana mungi, N'abo abaali batuula mu nsi y'okufa ne mu kisiikirize kyakwo, Omusana gubaakidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaabeeranga mu kizikiza balabye ekitangaala ekingi. N'abaabeeranga mu nsi y'olumbe ne mu kisiikirize kyalwo, ekitangaala kibaakidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu abaali batuula mu kizikiza, Baalaba omusana mungi, N'abo abaali batuula mu nsi y'okufa ne mu kisiikirize kyakwo, Omusana gwabaakira.