Matthew 4:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba ab'oluganda babiri: Simoni ayitibwa Petero ne Andureya muganda we, nga basuula akatimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya, n'alaba ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayita Peetero, ne Andereya muganda we, nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba abooluganda babiri, abavubi: Simooni ayitibwa Peetero, ne muganda we Andereya, nga batega akatimba mu nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'atambula ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya, n'alaba ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayita Peetero, ne Andereya muganda we, nga basuula omugonjo mu nnyanja, kubanga baali bavubi.