Matthew 4:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatambulako okuva awo, n'alaba ab'oluganda abalala babiri: Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebedaayo, nga basanirira obutimba bwabwe, n'abayita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atambulako katono mu maaso n'alaba ab'oluganda babiri abalala, Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebbedaayo, nga bayunga obutimba bwabwe; n'abo Yesu n'abayita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatambulako okuva awo, n'alaba abooluganda babiri abalala: Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato ne kitaabwe Zebedaayo, nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Yesu n'abayita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atambulako mu maaso n'alaba ab'oluganda babiri abalala, Yakobo omwana wa Zebedaayo, ne Yokaana muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebeedaayo, nga bayunga emigonjo gyabwe; n'abayita.