Matthew 4:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'atalaaga Galilaaya yonna ng'ayigiriza mu sinaagooga zaabwe, ng'ababuulira Evangili y'obwakabaka ate ng'awonya buli bulwadde bwonna na buli nkenyera mu bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abuna Ggaliraaya yonna, ng'ayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'atambula Galilaaya yonna ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka bwa Katonda, era ng'awonya obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna mu bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abuna Ggaliraaya yonna, ng'abayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna mu bantu.