Matthew 4:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettutumu lye ne lituuka wonna mu Siriya; ne bamuleetera abalwadde bonna, abaalina endwadde eza buli ngeri, n'abalumizibwa, n'abakwatiddwa emyoyo emibi, n'ab'ensimbu, n'abakonzibye, n'abawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonna, ne bamuleetera bonna abaali balwadde, abaali bakwatidwa endwadde ezitali zimu, n'ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu, n'ab'ensimbu, n'abaali bakoozimbye; bonna n'abawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettutumu lye ne libuna mu Siriya mwonna. Ne bamuleetera abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, n'abaalina buli ekibabonyaabonya, n'abaliko emyoyo emibi, n'ab'ensimbu, n'abakonvubye, bonna n'abawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonna: ne bamuleetera bonna abaali balwadde, abaali bakwatiddwa endwadde ezitali zimu, n’ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu; n'ab'ensimbu, n'abaali bakoozimbye; n'abawonya.