Matthew 4:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibiina bingi ne bimugoberera okuva mu Galilaaya, mu Dekapoli, mu Yeruzaalemu, mu Buyudaaya n'emitala wa Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli, ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibiina by'abantu bangi, ne bamugoberera nga bava e Ggaliraaya n'e Dekapoli n'e Yerusaalemi n'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi nnyo ne bajja gy'ali, nga bava mu Galilaaya ne mu kitundu ky'e Dekapoli, ne mu Kibuga Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya, era n'emitala wa Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibiina bingi, nga bava e Ggaliraaya n’e Dekapoli n'e Yerusaalemi n’e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani ne bayita naye.