Matthew 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi, kubanga kyawandiikibwa nti: “ ‘Aliragira bamalayika be ku ggwe, era balikutwalira mu mikono gyabwe oleme kukoona kigere kyo ku jjinja.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amugamba nti, “Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi; kubanga kyawandiikibwa nti,” “ ‘Alikulagiririza bamalayika be, Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Katonda aliragira bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe, oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi: kubanga kyawandiikibwa nti Alikulagiririza bamalayika be: Mu mikono gyabwe balikuwanirira, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.