Matthew 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalaba ebibiina, n'ayambuka ku lusozi, n'atuula, abayigirizwa be ne bamusemberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yalaba ng’ebibiina byeyongera obungi, n’alinnya ku lusozi, abayigirizwa be ne bajja gy’ali,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yalaba ebibiina by'abantu, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja w'ali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yalaba abantu abangi bwe batyo, n'ayambuka ku lusozi. Bwe yamala okutuula, abayigirizwa be ne bajja w'ali,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yalaba ebibiina, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy'ali.