Matthew 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beesiimye abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ba mukisa abayigganyizibwa olw'okukola Katonda by'ayagala; kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.