Matthew 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Anti bwe batyo bwe baayigganya abalanzi abaabasooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi ab’edda bwe baayigganyizibwa bwe batyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga bwe batyo bwe baayigganyanga bannabbi abaasooka mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musanyuke, mujaganye, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. N'abalanzi abaasooka mmwe okubaawo, bwe batyo bwe baayigganyizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.