Matthew 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mmwe munnyo gw'ensi. Kale omunnyo bwe gusaabulukuka, gunazzikamu gutya ensa? Guba tegukyalina kye gugasa, wabula okumansibwa ebweru, ne gulinnyirirwa abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Guba tegukyagasa nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu ne bagulinnyirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe munnyo gw'ensi. Naye singa omunnyo gusaabulukuka, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Guba tegukyagasa, wabula gusuulibwa wabweru, abantu ne bagulinnyirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira.