Matthew 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muleke kulowooza nga najja kudibya Tteeka oba Abalanzi; sajja kudibya wabula okutuukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temulowooza nti Najja okuggyawo amateeka ga Musa oba ebya bannabbi. Sajja okubiggyawo wabula okubituukiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi; sajja kubidibya, wabula okubituukiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muleke kulowooza nti najja kudibya Mateeka oba ebyo abalanzi bye bayigiriza. Sajja kubidibya, wabula okubituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza.