Matthew 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mbagamba nti okutuusa eggulu n'ensi lwe biriggwaawo, mpaawo kanyukuta, yadde akatonnyeze, biriva mu Tteeka okutuusa nga byonna bituukiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mazima mbagamba nti, eggulu n'ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak'omu Mateeka tekaliggwaawo, okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima mbagamba nti eggulu n'ensi nga bikyaliwo, ennukuta emu, wadde akatonnyeze akamu tekalidibizibwa mu Mateeka, okutuusa byonna lwe birituukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira.