Matthew 5:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno oyo yenna alimenya wadde ekimu ku biragiro bino ebisinga obutono, aliyitibwa asinga obutene mu bwakabaka obw'omu ggulu. Sso alibikwata n'abiyigiriza, aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu; naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno buli adibya erimu ku mateeka ago, wadde agasinga obutono, era n'ayigiriza bw'atyo abantu, aliyitibwa asembayo mu Bwakabaka obw'omu ggulu. Kyokka oyo akwata Amateeka, n'ayigiriza n'abalala okugakwata, aliyitibwa mukulu mu Bwakabaka obw'omu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu: naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.