Matthew 5:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga, ka mbabuulire, obutuukirivu bwammwe bwe butalikira bwa bawandiisi na Bafarisaayo, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbagamba nti: bwe mutaabenga beesigwa okusinga abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo mu kukola Katonda by'ayagala, temuliyingira Bwakabaka bwa mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butuukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.