Matthew 5:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze mbagamba nti buli yenna alisunguwalira muganda we, alisalirwa omusango. Aligamba muganda we nti: ‘Oli kintuntu!’ alisalirwa omusango mu Lukiiko. Ate aligamba muganda we nti: ‘Oli musiru!’ alisalirwa omusango gw'omuliro gwa Geyenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, aba azizza omusango; n'oyo anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwa mu lukiiko, ate anaagambanga muganda nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze mbagamba mmwe nti: buli muntu asunguwalira muganda we, aliwozesebwa. Oyo ayita muganda we ‘Ekitagasa’, alireetebwa mu maaso g'olukiiko olukulu. Ate aliyita muganda we ‘Omusirusiru’, asaanira okusuulibwa mu muliro ogutazikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, alizza omusango; naye anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwamu lukiiko, naye anaagambanga nti Musirusiru, asaanidde okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro.