Matthew 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tabagana mangu ne gw'owoza naye nga mukyali mu kkubo, gw'owoza naye aleme kukutwala wa mulamuzi; omulamuzi aleme kukuwa mukuumi, n'osibibwa mu kkomera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeragananga mangu n’oyo akuwawaabira nga mukyali mu kkubo aleme kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi okukuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale okukuteeka mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tabagananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'oba ng'ogenda n'omuntu akuwawaabira, tabagana naye mangu nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'osuulibwa mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yagalananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera.