Matthew 5:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baagamba era nti: ‘Anaagobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'obugobe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Baagambibwa era nti: ‘Buli agoba mukazi we, amuwanga ebbaluwa ekakasa nti amugobye!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba: