Matthew 5:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze mbagamba nti buli agoba mukazi we, wabula mpozzi olw'obwenzi, aba amusudde mu bwenzi; n'oyo awasa omukazi agobeddwa, aba ayenze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nange mbagamba nti buli muntu anaagobanga mukazi we, wabula ng'amugobye lwa bwenzi, ng'amwenzezza, n'oyo anaawasanga gwe baagoba, ng'ayenze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze mbagamba mmwe nti buli agoba mukazi we, okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, aba amusudde mu bwenzi. N'oyo awasa gwe bagobye, aba ayenze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze.