Matthew 5:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era mwawulira ng'ab'edda baabagamba nti: ‘Tolayiriranga bya bulimba; by'olayidde obituukirizanga ew'Omukama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwawulira bwe kyagambibwa ab’edda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tolayiranga bya bulimba, naye otuukirizanga eri Mukama ebyo byolayidde;’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era mwawulira abantu edda bwe baagambibwa nti: ‘Tolayiranga bya bulimba, naye by'osuubizza Mukama ng'olayira, obituukirizanga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwawulira ate ab'edda bwe baagambibwa nti Tolayiranga bya bulimba, naye otuukiririzanga Mukama by'olayira: