Matthew 5:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula kye mwogera kibenga ‘Yee’ aweetaagisa yee, oba ‘Nedda,’ aweetaagisa nedda; ekisinga ku ebyo kiva mu mubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye muddangamu buzzi nti, ‘Weewaawo.’ Oba nti, ‘Si weewaawo’. Kubanga bw’ogezaako okukakasa ebigambo byo n’okulayira kiraga nti waliwo ekitali kituufu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo; naye ebisinga ebyo biva mu mubi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugambenga nti: ‘Weewaawo,’ oba nti ‘Si weewaawo’ Ebisinga ku ebyo biva mu Mubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo: naye ebisinga ebyo biva mu mubi.