Matthew 5:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwawulira nga baagamba nti: ‘Liiso olw'eriiso, linnyo olw'erinnyo,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwawulira nga kyagambibwa nti, ‘Omuntu bw’anaggyangamu eriiso lya munne n’erirye linaggibwangamu. Oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mwawulira bwe baagambibwa nti ‘Eriiso ligattibwenga liiso, n'erinnyo ligattibwenga linnyo,’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwawulira bwe baagambibwa nti: ‘Eriiso ligattibwa liiso, erinnyo ligattibwa linnyo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwawulira bwe baagambibwa nti Eriiso ligattwenga eriiso, n’erinnyo ligattwenga erinnyo: