Matthew 5:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze mbagamba nti teweereeganga na mubi; oli bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbagamba nti, Temuwakananga na mubi, naye omuntu bw’akukubanga oluyi ku ttama erya ddyo omukyusizanga n’ettama eryokubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye nange mbagamba mmwe nti Temuziyizanga mubi; naye omuntu bw'akukubanga ku luba olwa ddyo, omukyusizanga n'olwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze mbagamba mmwe nti: temuziyizanga mubi, wabula omuntu bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye nange mbagamba nti Temuziyizanga mubi: naye omuntu bw'akukubanga oluba olwa ddyo, omukyukiranga n'olwa kkono.