Matthew 5:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
lwe mulibeera abaana ba Kitammwe ali mu ggulu, ayasiza enjuba ye ababi n'abalungi, n'atonnyeseza enkuba ye abatuukirivu n'abatali batuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi, era n’enkuba agitonnyeza ab’amazima n’abatali ba mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulyoke mubeerenga abaana bakitammwe ali mu ggulu; kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, era atonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulyoke mube abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza abalungi n'ababi, era atonnyeseza enkuba abakola obulungi n'abakola obubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.