Matthew 5:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga mwagala babaagala, mufunamu mpeera ki? Abasolooza b'omusolo nabo si bakola kye kimu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? N’abawooza bwe bakola bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe munaayagalanga abo ababaagala, mulina mpeera ki? N'abawooza tebakola bwe batyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale singa munaayagalanga abo nammwe ababaagala, mulifuna mpeera ki? Abasolooza b'omusolo nabo si bwe bakola?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? n'abawooza tebakola bwe batyo?