Matthew 5:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga mulamusa baganda bammwe bokka, kiki kye mukola kye musinza abalala? Ne bannamawanga si bwe bakola?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki n’abalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, olwo kye mukoze okusinga abalala ki? N'ab'amawanga tebakola bwe batyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa munaalamusanga baganda bammwe bokka, kye mukoze ekyeyongeddeko okusinga eky'abalala kiruwa? Abantu ab'ensi nabo si kye bakola?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? N’ab'amawanga tebakola bwe batyo?