Matthew 6:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwekkaanyenga, ebikolwa byammwe eby'obutuukirivu obutabikolanga mu maaso g'abantu nga mugoberera babalabe; kubanga olwo temulifuna mpeera ewa Kitammwe ali mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mwekuume obutakoleranga bikolwa byammwe eby'obutuukirivu mu maaso g'abantu balyoke babalabe; kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temuuweebwenga mpeera okuva eri Kitammwe ali mu ggulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwekuume obutakolanga bikolwa byammwe ebirungi mu maaso g'abantu balyoke babalabe, kubanga bwe mukola bwe mutyo, Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekuume obutakoleranga bigambo byammwe eby'obutuukirivu mu maaso g'abantu, era babalabe: kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temuuweebwenga mpeera eri Kitammwe ali mu ggulu.