Matthew 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe musiibanga, temwenakuwazanga ng'abakuusa bwe bakola; bafumyafumya amaaso gaabwe abantu balyoke babalabe nti basiiba; ka mbabuulire, empeera yaabwe yonna bagifunye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku; kubanga beeyonoona mu ndabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe musiibanga, temubanga ng'abakuusa, abanakuwala ku maaso. Boonoona endabika yaabwe, abantu balyoke babalabe nti basiiba. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate bwe musiibanga, temubeeranga nga bannanfuusi, abalina amaaso ag'ennaku: kubanga beeyonoona amaaso gaabwe, era abantu babalabe nga basiiba. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe.