Matthew 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo ali mu nkiso y'aba akulaba; oyo Kitaawo alaba ebiri mu nkiso alikuweera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo atalabika ye aba akulaba. Era Kitaawo oyo alaba ebikolebwa mu kyama alikuwa empeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu balemenga okulaba ng'osiiba, wabula Kitaawo ali mu kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.