Matthew 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno ggwe bw'ogabanga, tokulembezangamu kkondeere ng'abakuusa bwe bakola mu sinaagooga ne mu mbuga, abantu balyoke babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe yonna bagifunye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, ng'abannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti baba bamaze okuweebwa empeera yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno bw'ogabiranga abaavu, teweeyimbiriranga ng'abakuusa bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, nga bannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti Bamaze okuweebwa empeera yaabwe.