Matthew 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula obugagga bwammwe mubwekuŋŋaanyirizenga mu ggulu eyo ennyenje n'obutalagge gye bitabwonoonera n'ababbi gye batamenya kububba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira, so gye batabbira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye mweterekere obugagga mu ggulu, gye butayonoonerwa nnyenje wadde obutalagge, era ababbi gye batasima ne babba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje newakubadde obutalagge, so n'ababbi gye batasimira; so gye batabbira: