Matthew 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eriiso ye ttawaaza y'omubiri. Awo nno eriiso lyo bwe liba eddamu, n'omubiri gwo gwonna gutangaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ettabaaza y'omubiri lye liiso, eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ettaala y'omubiri lye liiso. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ettabaaza y'omubiri lye liiso: eriiso lyo bwe liraba awamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala.