Matthew 6:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye eriiso lyo bwe liba eddwadde, omubiri gwo gwonna gujja kubeera mu nzikiza. Kale obanga ekitangaala ekikulimu nzikiza, enzikiza eyo nga nnyingi!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'ekizikiza. Kale okutangaala okuli munda mu ggwe bwe kubeera ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa obunene!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye eriiso lyo bwe litaba ddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekizikiza. Kale obutangaavu mu ggwe bwe buba ekizikiza, ekizikiza ekyo kiryenkana wa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'ekizikiza. Kale okutangaala okuli munda mu ggwe bwe kubeera ekizikiza, ekizikiza ekyo kyenkana wa obunene!