Matthew 6:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mpaawo ayinza kuweereza baami babiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala, oba alyesiba ku omu omulala n'amunyooma. Temuyinza kuweereza Katonda na byabugagga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona. ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri; kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri. Oba alikyawa omu n'ayagala omulala, oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda, ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri: kuba oba anaakyawanga omu, n'ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n'anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona.