Matthew 6:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti munaalya ki, oba nti munaanywa ki, newandibadde omubiri gwammwe nti munaayambala ki. Obulamu si bwe bukira emmere n'omubiri si gwe gukira ekyokwambala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki, mulinywa ki; newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebusinga mmere, n'omubiri tegusinga byakwambala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga kye munaalya ne kye munaanywa okukuuma obulamu bwammwe, newaakubadde kye munaayambaza emibiri gyammwe. Obulamu si bwa muwendo okusinga emmere? N'omubiri si gwa muwendo okusinga ebyokwambala?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki; mulinywa ki; newakubaade omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebukira mmere; n’omubiri tegukira byakwambala?