Matthew 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ggwe bw'ogabanga, omukono gwo ogwa kkono togulekanga kumanya gwa ddyo kye gukoze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo kye gukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo bye gukola: