Matthew 6:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mulekenga kweraliikirira lwa nkya; olw'enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku lubeera n'emitawaana gyalwo egirumala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale temweraliikiriranga bya jjo, kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale temweraliikiriranga biribaawo jjo. Olunaku olwa jjo luliba n'ebyeraliikirirwa ebyalwo. Buli lunaku lubaako emitawaana egimala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale temweraliikiriranga bya jjo: kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibi kyalwo kirumala.