Matthew 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe mwegayiriranga, temubeeranga ng'abakuusa abaagala okwegayirira nga bayimiridde mu sinaagooga ne mu masaŋŋanzira g'enguudo, abantu balyoke babalabe. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe yonna bagifunye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era bwe mubanga musaba mwekuume obutaba nga bannanfuusi abaagala okweraga nga bwe bali bannaddiini, ne basabira mu makuŋŋaaniro ne ku nguudo mu lujjudde, abantu babalabe. Abo, eyo y’empeera yokka gye balifuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi; kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bwe mubanga musinza Katonda, temubanga ng'abakuusa, kubanga baagala okusinza Katonda nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, abantu balyoke babalabe. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bagifunye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi: kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe.