Matthew 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate nga mwegayirira, temubujjabujjananga ng'abakafiiri bwe bakola; balowooza nti mu kutontoma ebingi mwe banaawulirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe bwe musabanga, temudiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola; kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mubangako kye musaba Katonda, temumalanga googera bigambo bingi ng'abantu ab'ensi bwe bakola, abalowooza nti banaawulirwa lwa bigambo byabwe ebingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe bwe musabanga, temuddiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola: kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi.