Matthew 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temubafaanana, anti Kitammwe kye mwetaaga muba temunnaba na kukimusaba, ng'akimanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, temufaanananga nga bo, kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleme nno kufaanana nga bo. Kitammwe amanyi bye mwetaaga, nga temunnaba na kumusaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, temufaanana nga bo: kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.