Matthew 7:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale oba mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinzaawo okuwa ebirungi ababa bamusabye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abo abamusaba?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebirungi abo ababimusaba?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abamusaba?