Matthew 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno kyonna kye mwagala abantu babakolere, nammwe kye mubanga mubakolera. Anti eryo lye Tteeka n'Abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe bwe mutyo mubibakolenga; kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno byonna bye mwagala abalala babakolere mmwe, nammwe mubibakolerenga. Ekyo Amateeka n'enjigiriza y'abalanzi kye bitegeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.