Matthew 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omulyango ogutwala mu bulamu gwa kanyigo, n'ekkubo erituusaayo zzibu, n'abaliggukamu batono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo zibu eridda mu bulamu, n'abo abaliraba batono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuzigo oguyingira mu bulamu mufunda, n'ekkubo erituukayo lya kanyigo, n'abali zuula batono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n'abo abaliraba batono.