Matthew 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwerinde abalanzi ab'obulimba abajja gye muli mu byambalo eby'endiga, sso nga munda gye misege emikwakkuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye nga munda gy'emisege egisikula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwekuume abalanzi ab'obulimba, abajja gye muli nga kungulu bafaanana ng'endiga, sso nga munda gye misege eminyazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye munda gy'emisege egisikula.