Matthew 7:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nga bwe mulamula, nammwe bwe munaalamulibwanga; n'ekipimo kye mugera, nammwe kye kiribagererwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omusango nga bwemugusalira abalala, nammwe bwe gulibasalirwa, era ekigera kye mugereramu, ekyo nammwe kye muligererwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga, nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa. Era ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe.